Empaka z’amasaza: Bulemeezi ne Buluuli battunka nkya
Essaza lya Bulemeezi lyakuttunka ne Buluuli mu mupiira oguggulawo empaka z’amasaza ga Buganda ez’omwaka guno e Kasana mu Luweero olunaku lw'enkya. BannaBulemeezi bebalina ekikopo ky'empaka z'omupiira gw'amassaza zebawangula omwakaoguwedde oluvanyuma lw'okukuba Gomba ggoolo 1-0.