Aba boda boda mu Kampala baagala kugula ambulance yaabwe
Aba boda boda mu Kampala n'emiriraano baagala kugula Ambulance egenda okuyambako okutambuza bannaabwa singa bafuna obubenje .Bano bakkaanyizza okutegeka emisinde mwe bagenda okuyita okusonda ensimbi zokugula ambulance eno mu nsisinkano eyetabiddwako ne minisita omubeeze ow'ebyamawulire Godfrey Kabyanga.Ono bano abalabudde okuba abeegendereza nga beewola ensimbi ku bamane lender.