Ssenyonyi ayagala gav’t ebeeko by’etereeza
Akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Joel Ssenyonyi, ayagala gavumenti efube okutereeza enkola ku bya'amasomo agasomesebwa mu matendekero agawaggulu. Ono agamba nti abayizi bangi abaagala okusomera ebweru w'eggwanga bazza balemererewa okufuna ebifo mu matendekero gye baagala okusomera olw'amasomo agamu okubeera nga tegannaddizibwa bujja. Bino Ssenyonyo abadde ku kabaga akategekeddwa omubaka wa Bukoto East Ronald Evans Kanyike, olwokufuna diguli mu by'obufuzi nenkolagana y'amawanga.