Ani yatta Winifred Mwesigwa?
Waliwo famile ekyanoonya obwenkanya, olwa muwala wabwe eyasangibwa ngattiddwa omwaka oguwedde oluvannyuma lw'okubula ngava ku ttendekera lya Kawempe Community School of Health Sciences lye yali akulembera .Aba famile ya Winifred Mwesigwa bakyalina ebibuuzo bingi ebitannaddibwamu ku nfa y'omwana waabwe wabula nga Poliisi n'egyebuli eno terina gwe yali ekutte.