Abakuumi b’essuundiro batemeddwa, abakikoze badduse n’obukadde busatu
Ku kyalo Kazinga mu ggombola ye Nakisunga e Mukono, waliwo abakuumi b’e Ssundiro ly’amafuta abattiddwa mu kiro ekikeeseza enkya ya leero .
Obutemu buno bubadde ku Ssundiro erimanyiddwa nga Chard Energy Petrol Station , nga bano olumaze okukola obutemu buno ne badduka ne nsimbi.
Poliisi etubuulidde nti okunonyereza ku nsonga eno kutandise .