Abakuumi ba kampuni y’obwannayini G4S banoonyerezebwako gwa bunyazi bwa ssente
Waliwo abakuumi ba kampuni y’obwannayini eyitibwa G4S abanoonyerezebwako olw’okulekerera omulimu ogwabakwasiiddwa okutambuza ensimbi za bbanka emu ate bbo nebakunyuuka nazo.Bano babbye ensimbi ezisukka mu kawuumbi kamu n’obukadde nkaaga, gattako ezisoba mu mutwalo gwa ddoola za America.Nga bamaze okunyaga, mmotoka y’abakama baabwe baaleka bagisudde mu bitundu by’e Lubaga bbo nebeeyongerayo