Abalaalo mu mambuka: Ekibinja ekirala ekiva e Cameroon kiyingidde West Nile
Abakulembeze mu bukiika kkono bwe ggwanga batubuulidde nti waliwo ebibinja by’abalaalo ebibalumbye nga bano bavudde mu mawanga okuli Congo,Central African Republic ne Cameroon. Omuduumizi w’ekibinja ky’amaggye eky'okuna, Major General Felix Busizoori, atugambye nti bano batisatiisa abatuuze nti singa bakwata ku bisolo byabwe bajja kubaloga, ekitadde abatuuze ku bunkenke. Newankubadde biri bityo amaggye gatugambye nti gaakasengula ente ezisukka mu 19,000 bukyanga baweebwa kikwekweto kino ekyatuumwa Opration Harmony.