Okuddamu akamyufu: E Kapchorwa abaawangulwa mu kusooka be bawangudde
Okuddamu okulonda mu kamyufu ka NRM mu disitulikiti ye Kapchorwa kwagenze okuggwa olunaku lw'eggulo ng'abamu ku baawangula mu kulonda okwasooka nga 17 ate bameggeddwa. Okulonda okwasooka kwasazibwamu olw'emivuyo egyakwetobekamu omwali n'obuli bw'enguzi. Abaawanguddwa mu kulonda kuno nabo baasigadde bakukkuluma nga bagamba nti waabaddewo ebirumira.