Empaka za CHAN: Biibino ebimu ku bisaawe ttiimu mwe zigenda okutendekerwa
Empaka za CHAN zaakujibwako akawuwo mu butongole olunaku lw'enkya mu kisaawe kya Benjamin Mkapa e Tanzania nga aba Tanzania bambalagana ne Burkina Faso ate wezinava awo zetoolole amawanga malala okuli Kenya ne Uganda. Wano mu Uganda emipiira egisooka gyakuzannyibwa ku balaza mu kisaawe e Nambole, Guinea bwenaba ettunka ne Niger mu mupiira ogunasokawo ate oluvannyuma Uganda bujjeefuke ne Algeria. Tutanduruddeko olubu lw'ebigere okulambula ebisaawe ebigenda okukozesebwa mu mpaka zino wabula tetukkirizidwa kuyingira Namboole koffe katugende e Kyambogo ne Wankulukuku.