Okusondera kkampeyini mu NUP: Akakiiko ka Balimwezo kaakutandika okutalaaga ebitundu eby'enjawulo
Ekibiina ki NUP kitubuulidde nti kyakutandika okutalaaga mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo mu kaweefube w'okusonda ensimbi ezinayambako Okuvujjirira kakuyega wa bannakibiina abateesobola, kko n'agenda okubakwatira bendera Robert Kyagulanyi Ssentamu. Eyaweebwa omulimu gw'okukulemberamu kaweefube ono, Ronald Balimwezo, atugambe nti baabalirira nga betaaga obuwunbi mwenda, kyokka nga baakafunako obukadde 700 wabula nga abeetema bangi tebannatuukiriza bweyamu. Kati bano bagamba nti kyebazzaako kya kutuuka ku buli muntu, n'alina olw'ataano naye nga awagira enkyukakyuka asobole okuwaayo