Abantu baabulijjo mu kkooti y’amagye: Abayivu ne bannamateeka bagamba kya byabufuzi
Bannamateeka bagamba nti ekya Palamenti okukola enongoosereza mu teeka lya kooti y'amaggye li UPDF act okwongera obuyinza eri kooti y'amaggye okuwozesa abantu ba bulijjo , kigendereddwamu kubonyabonya naddala bannabyabufuzi, so si kuwa bannayuganda bwenkanya.
Bano bagamba nti ebbago nga lifuuse eteeka ,ligenda kuwa kooti y'amaggye obuyinza bwonna obuwozesa naddala bannabyabufuzi abavuganya gavumenti newankubadde abaliwagira balisiiga akazigo.