Abategesi b’ebivvulu bayambalidde Alien Skin ne Pallaso
Abetegesi b’ebivulu mu ggwanga basazeewo okussa envumbo ya myezi esatu ku bayimbi Patric Mulwana amanyiddwa nga Alien Skin ne Pius Mayanja amanyiddwa aga Palaso nga babalanga kusiiwuuka mpisa mu bivvulu ebyakomekkerezza omwaka omukadde Abategesi okubadde Balam barugahare, Abbey musinguzi, Bajjo, Yasin Kavuma owa ktv promotions, Balunywa nabalala bagamba sibakukiriza busiwuufu bwampisa kutatana omulimu gwabwe. Mu lukungaana lwabamawulire lwe bakubye ku woteeri ya Sheraton wano mu Kampala, bano basabye Poliisi ekole okunoonyereza ku nsonga eno mu bwangu.