Abatuuze bagamba etterekero ly’omusaayi e Hoima lya kuyamba okutumbula eby’obujjanjabi
Abatuuze mu disitulikiti ye Hoima balina essuubi mu tterekero ly’omusaayo eryazimbiddwa mu kitundu kyabwe. Disitulikiti eno n’endala eziri mu Bunyoro Zibadde n’okusomoozebwa olw’omusaayi ogutamala wabula nga ekizibu kino ky’olekedde okufuuka olufumo olw’etterekero ly’omusaayo okuzimbibwa mu kitundu kino. Etterekero lino lyatongozeddwa Ssaabaminisita wa Uganda Robina Nabbanja akawungeezi k’eggulo mu kibuga Hoima.