Engeri empaka z’amasaza gye ziyambye Kenneth Kimera okutumbula ekitone
Omuteebi wa Vipers SC Kenneth Kimera y’omu ku batuuse ku ddaala ly’okuzannyira kkirabu ez’amaanyi mu liigi ya wano nga bayita mũ mpaka z’omupiira gw’Amasaza. Kimera atubuulidde engeri gye yayingira empaka z’amasaza ate ezimutuusizza mu ligi enkulu gy’azannyira mu kiseera kino.