“Mumukebere Muzuule Ekituufu”: Kkooti eragidde Mulago ku mbeera y’omubaka nandutu
Kkooti ewozesa obukenuzi eragidde eddwaliro ekkulu ery’e Mulago okwekebejja embeera y’eyali minisita omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja Agnes Nandutu okuzuula oba nga ddala temusobozesa kwewozaako ku misango egyekuusa ku kubulankanya amabaati ge Karamoja. Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi Jane Okuo Kajuga ali mu mitambo gy’omusango guno oluvannyuma lwa Nandutu okugaana okwewozaako ng’agamba nti mulwadde.
Omwaka oguwedde Kkooti eno lwe yasalawo nti Nandutu yalina okwewozaako, okunnyonyola engeri amabaati agaali ag’okusindikibwa e Karamoja gye gaafundikira nga gali ku faamu ye e Seeta - Mukono. Emirundi ebiri egiyise nga Nandutu agaana okwewozaako ng’awa ensonga z’obulwadde okutuusa olwaleero omulamuzi Kajuga lwamulagidde kumpaka atandike okwewozaako mu lutuula lw’olwaleero.