Okutandika ekkolero ly’emmotoka: Bamusigansimbi bazze mu Uganda, Nabbanja abawadde essuubi
Waliwo Bamusigansimbi okuva mu Ggwanga lya China abazze kuno nga baagala okutandika ekkolero erigatta mmotoka. Bano nga be bannyini kampuni ekola ekika kya motoka eya Cherry leero basisinkanya Ssaabaminisita Robinah Nabbanja okwongera okwegeyamu naye ku nsonga eno. Nabbanja bano abakakasizza nga gavumenti ya Uganda bweri ennetegefu okubayambako okulaba nga bazimba ekkolero lino.