Ebiragalalagala mu matendekero: Waliwo akabinja akabitambuza n’okubisaasaanya mu bayizi
Olunaku lw’eggulo lwe twatandise elujegere lwe mboozi zaffe ezikwatagana ku nkozesa ye biragalagala mu baana ba masomero naddala amatendekero agawaggulu. Mu kitundu eky’okubiri ,katulabe obulabe ebiragalagala bino bwebituusiza ku bayizi, na biki abakulu b’amatendekero agakoseddwa kye bakoze okuyamba abayizi ababadde bagufuula omuze,okusobola okugweyambula.