Okulonda Mu NRM: Ekibiina kifulumizza enteekateeka, ssente z’okwewandiisa zirinnye
Ab'ekibiina ki NRM basomoozezza akakiiko k'ebyokulonda okwongera okwetereeza bw'ekituuka ku kuwandiisa abalonzi.Bano bewuunya okuba nga n'okutuusa kati, akakiiko tekannafulumya nkalala za balonzi ez'enkomeredde, abantu basobole okumanya buli omu bw'ayimiridde.Olwalaeero NRM erangiridde olukangagga lw'olugendo lw'ayo okutuuka mu 2026 n’olukalala lwa balonzi obukadde 19 mu emitwalo kinaana.