Okulumba Pulezidenti Museveni : Baguma asimbiddwa mu kkooti, agguddwako emisango esatu
Omuvubuka eyagezaako okwambalira omukulembeze bweyali agenze e Kawempe okuwenja akalulu k'okujjuza ekifo kya Kawempe North asimbiddwa mu mbuga z'amateeka naggulwako e misango esatu.Omuvubuka ono Yoram Baguma yalabwako ng'adduka agenda eri omukulembeze w'e ggwanga , Kyoka abaserikale ne banguwa okumutangira Emisango gy'awerennemba nagyo kuliko okunyiiza omukulembeze w’eggwanga, okugaana okugondera amateeka n'okulumya omuserikale, nga gyonna yagizza nga 11 omwezi oguwedde.