Ssente z’okwekubako Enfuufu: Ababaka 72 be baatadde emikono ku kiwandiiko ekizeebalama
Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi atadde mu lujjudde omuwendo gw’ababaka abaatadde emikono ku kiwandiiko ekyegaana n’okuwakanya okufuna ssente obukadde kikumi okuva mu woofisi ya pulezidenti. Olukalala olufulumiziddwa luliko emikono gy'ababaka 72. Ono ayagala wabeerewo okunoonyerezza ku ngeri gavumenti gy'esaasanya ensimbi ezigiweebwa mu nkola ey'embalirira eneekuusifu oba Classified Budget zaagamba nti zikozesebwa bubi, era nga alumiriza nti n’obukadde ekikumu obwaawebwa buli mubaka bwaava ku zino.