Endooliito mu ba NRM E Mubende: Namayanja agamba nti ekibiina kyakutuuza abakulembeze
Amyuka Ssabawandiisi w’ekibiina ki NRM Rose Namayanja Nsereko, alangiridde ng'ekibiina ki NRM bwekigenda okutuuza abakulembeze ba NRM e Mubende okumalawo endoliito ezeraliikirizza ekibiina mu kiseera nga akalulu ka 2026 kabindabinda.Asinzidde mu lukungaana lw'ababaka ba NRM abava mu Buganda lwe bakubye mu kibuga Mubende nga Bakulemberwamu omubaka Lubega Bashir Sempa akiikirila Municipaali ye Mubende mu Palamenti.