Ab’ebidduka basanyufu olwa Karuma okuddamu okuggulwa
Oluvanyuma lwa wiiki ssatu nga olutindo lwa Karuma luggaddwa, kyaddaaki lugguddwawo eri ebidduka byonna.Abakozesa olutindo luno bagamba nti bawonye okwekoloobya n’okutambulira mu bugubi okutuuka gye baba balaga.Okusinziira ku minisitule y’eby’enguudo,olutindo luno lwakaseera nga gavumenti bwezimba olutindo olw’enkalakkalira.