OKUWANDIISA PFF:Ssemujju ne banne bakukkulumidde akakiiko okubakandaaliriza
Ab'ekiwayi kya FDC ekye Katonga bateekateeka kulumba kakiiko k'ebyokulonda okubannyonyola lwaki baluddewo okuwandiisa ekibiina kyabwe so ng'ebyetaagisa byonna babiwaayo ddaKyokka abakakiiko bagamba nti bano kye bajje baweeyo emikono emirala gye baabagamba okutereezaamu era nga mu kiseera kino gye bakyetegereza .
Etteeka erirungamya ebibiina by'obufuzi liwa akakiiko k'ebyokulonda emyezi mukaaga okukola ku by'okuwandiisa ekibiina, singa kaba kafunye okusaba mu butongole.