Ebiragalalagala mu matendekero :Waliwo akabinja akabitambuza n’okubisaasaanya mu bayizi
Okumala akaseera omuwendo gw’abantu abasomyeko abeeyambisa ebiralagalalagala guzze gulinnya, nga ate bangi omuze guno baguyigira ku matendekero gye basomedde.Tumazze akaseera akawera nga tunoonyereza okuzuula abayizi bano engeri gye bafunamu ebiralagalalagala bino era netukizuula nti waliwo akabinja akakola ogw’okubitambuza n’okubisasaanya mu bayizi ababyetaaga.Bano omulimu guno bagukozesa bwegendereza nnyo, nti ne bw’oba oyagala okubagwa mu buufu kikwetaagisa naawe okubwama okumala akadde. Kino ky’ekitundu kyaffe ekisooka ku mboozi eno ey’ebiralagalalagala mu matendekero.