Manya ebikwata ku musujja gw'ensiri mu baana | OBULAMU TOOKE
Mu mwaka gwa 2019 minisitule y’eby’obulamu yakola okunoonyereza ku musujja gw’ensiri wano mu ggwanga nekulaga nti mu Kampala ku buli bantu 100 omu ku bbo yalina obuwuka obusasanya omusujja gw’ensiri singa ebeera emulumye ate neruma n’omulala. Kati olwaleero tuwubyeko olubu lw’ekigere netugendako mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga tusinze kutunulira baana bato abali wansi w’emyaka etano.