ABAVUNAANIBWA KU BY’E KARAMOJA: Kkooti ewadde kaliisoliiso nsalessale
Kkooti esookerwako ewozesa abalyake erabudde kaliisoliiso wa gavumenti nti ssinga alamererwa okugenda mu maaso n'omusango mwavunaanira abakungu ba woofisi ya ssaabaminisita beyatwala mu kkooti , omusango gwaakugobwa .Kkooti etaddewo olwa 17 January omwaka ogujja okulira omusango gwokukozesa obubi ensimbi obuwumbi buna nga zaali zakuyambako mu kuzza emirembe e Karamoja .