Abawagizi ba Akifeza beeyiye ku mayor’s gardens okumukulisa
Grace Akifeza eyalondeddwa ku kifo ky'omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kisoro mu kalulu k'okuddamu okulonda agamba nti waakukola ekisoboka okutumbula embeera z'abantu mu kitundu kye ng'ayita mu mirimu egyenjawulo Olwaleero abawagizi be beeyiye ku kibangirizi kya Mayor's Garden okujaguza obuwanguzi bwe Ono nga yeesimbyewo ku bwannamunigina yafunye obululu emitwalo etaano mu bina mu ataano mu mwenda so nga eyamuddiridde Rose Kabagyenyi yafunye obululu emitwalo ena mu enkuminnya mu lwenda mu kinaana mu bubiri