Akalulu k’e Kawempe: Sadat Mukiibi ne Karadi basiibye mu balonzi
Hanifah Karadi omu kubavuganya mu kalulu k'e Kawempe North asambaze ebyogerwa nti avudde mulwokaano, nga agamba nti ono kaweefube wa kukendeeza buwagizi bwe. Atubuulidde nga bwatagenda kusubwa mukisa gwa kwaniriza ssentebe wa kibiina kye ekya NRM Yoweri kaguta Museveni bwanaaba agenyiwaddeko mu kitundu kino olunaku lw’enkya.Mungeri y’emu ne munna FDC Sadat Mukiibi leero asiibye awenja kalulu mu kitundu kino, nga olukungana lwe alukubye ku muzigiti ggwa mbogo.