Akatuubagiro mu kusala e kkubo
Okusala enguudo mu Kampala ne mu bitundu ebirala eby’ebibuga kuba kwetoziira olw’abagoba b’emmotoka ne bodaboda abatafaayo kulowooza ku balala abakozesa enguudo. Kino kye kyateekesawo n’ebifo ab’ebigere we basalira basobole okufuna ku buweerero kyokka ne bino ab’ebidduka tebagondera mateeka gaabyo kuyimirira ab’ebigere basobole okusala. Kyokka twetegerezza ku nkola y’abagoba b’ebidduka mu kibuga ky’e Mbarara nga balinamu ku njawulo bw’ogeraageranya ku bibuga ebirala.