Amazaalibwa ga Kabaka; baabano ba Katikkiro abayiseeko mu bugubi
Okusinziira ku ntereeza y’obukulembeze mu Buganda,buli Kabaka alamula ne Katikkiro gweyeerondera awatali ku mukaka.Kyoka ebyafaayo bizze biraga nti ba katikkiro bano batera okuyita mu kusomooza okutagambika - era abamu ne bakyayibwa nyo mu Buganda. Kati nga tusemberera okukuza emyaka 70 egya kabaka Ronald Muwenda Mutebi- katulabe ku ba Katikkiro ba Buganda abazze bayita mu kusomooza okutoogerekeka.