Bana basunsuddwa, babiri bagobeddwa ku kya Kawempe North
Abantu bana kw'abo omukaaga ababadde balina okunsulibwa akakiiko k'eby'okulonda ku kujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North bebakakasiddwa okuvuganya nga ababiri babaddeko akabuuza.Elias Luyimbaazi Nalukoola owa NUP, Sadat Mukiibi owa FDC, Hanifah Karadi ne Muhammad Luswa Luwemba bebasobodde okumatiza akakiiko nti bagwanidde kyokka ye Moses Nsekero agobeddwa lwa biwandiiko ebitakwatagana ne Fahad Kayondo n'azzibwayo olw'enkaayana mu kibiina ki kyazze okukiikirira ki Uganda Federal Alliance.Eby'okwerinda bibadde binywevu era waliwo n'avuganya alumiriza nti abakulu bano baasoose kumuwambako biwandiiko bye.