Biibino ebimu ku bigambo Kanyeihamba by’azze ayogera
Olwaleero lwonna omutimbagano oyinza okugamba nti gusiibye guteevuunya obutambi mu maloboozi ag’enjawulo ku bizze byogerwa eyali omulamuzi wa kkooti ensukkulumu eyawawummula Prof. George Wilson Kanyeihama eyavudde mu bulamu bw’ensi.Bwewetegereza ebigambo omugenzi byazze ayogera mukiseera kye eky’obulamu, alabikira mu kifaananyi eky’omusajja abadde ayagala ennyo eggwanga lye okuba nga litambulira ku nfuga egoberera amateeka.Ng’omu ku baabaga ssemateeka wa Uganda, oluusi abadde atera n’okwoza ku munnye nga alaba gavumenti eringa egezaako okuyuzaayuza ssemateeka yo gweyekolera.Aniwalu Katamba yatukungaanyirizza ebimi ku bigambo bya Kanyeihamba ebijja okulwawo okwerabirwa.