Canon Musiwufu ayatulidde abakulira e kanisa ya Uganda
Eyali akulira lutikko ye Namirembe Rev Canon Augustine Magala Musiwufu ayattulidde abakulira ekanisa ya uganda olw’okwefuula bakyesirikidde ku nsonga ezigenda mu maaso mu ggwanga omuli nokusiba bannabyabufuzi mu ngeri etyoboola eddembe ly’obuntu. Ono atuuse nokubategeeza nti tebagwana kwogera na gavumenti nga baliko bye bagyagalako, wabula ne mukaseera akasomooza bannayuganda basitukiremu okugibuulira ekikyamu. Bino abyogeredde ku Lutikko e namirembe ku mukolo ogw'okutuuza Dean wa Lutiiko omuggya Rev Canon Dustan Kiwanuka Mazinga owe 11 nga ono azze mu bigere bya Dean awumudde Rev Canon Jonathan Kisawuzi.