E Busia embeera y’abasajja obutabalabirira bakyala yeebawaliriza okukola mu mu birombe
Wakati mu katubaagiro k’okulwanyisa obwavu, n’ebbula ly’emirimu , abakyala bangi bazze beenyigira mu kukola emirimu e mikakali egyirabwa nga egy’abasajja. Mu buufu obwo leero tugenda kulaba emboozi y’omukyala Margret Nabakka eyasalawo okwejjamu okutitiira n’akirira mu birombe bya zaabu ebisangibwa e Tiira mu district y’e Busia nga kati yenyigire mu kusima zaabu asobole okwebezaawo.