E Fort Portal waliwo abakwatiddwa lwa kuyiwa ttaka mu ntobazzi
Abantu abasoba mu 70 be banoonyezebwa e Fort Portal basobole okuvunaanibwa olw’okwonoona obutonde bw’ensi naddala entobazzi eziriraanye omugga Mpanga. Omugga guno mwe muva amazzi, ageyambisibwa abatuuze mu bulamu obwabulijjo. Abakulembeze mu kibuga kino tebatudde ku ky’okutaasa obutonde mu kitundu kino era ngawaliwo gwe bakutte ayiwa ettaka mu ntobazzi nga n’abalala n’abasoba mu nsanvu banoonyezebwa bavunaanibwe .