Paasita Ssempa ayogedde lwaki awagira eky'abakulisitaayo okuwasa abakazi abasukka mu omu
Bweyali alabiseeko mu kakiiko k'ebyamateeka akali mu kwebuuza ku bbago ly'etteeka ku bufumbo ku lwokuna lwa wiiki eno, Paasita Martin Ssempa yawaayo ekiteeso ngayagala abasajja bakkirizibwe okuwasa abakazi abasukka mu omu mu bufumbo bw'ekikurisitu. Ebigambo bya Ssempa bizze byogeza bangi obwama nga bebuuza engeri omusumba gyatuuka ku ssa lino. Tutuddeko n'ono mu mboozi eyakafubo okwongera okumutegeera.