E Gulu abavubuka bayisizza ebivvulu okulaga obumu ne Museveni mu lutalo ku nguzi
Waliwo abavubuka abakulembeddwamu ssentebe wa akakiiko ka abavubuka mu ggwanga Jacob Eyeru abayisizza ebivulu mu kibuga Gulu okulaga obumu n'omukulembeze w'eggwanga mu lutalo lw'aliko okulwanyisa enguzi. Bino we bigyidde nga waliwo n'ababaka ba Palamenti basatu abali ku alimanda mu makomera ku misango egyekuusa ku buli bwenguzi.