E Mityana waliwo Ab'ebijambiya be batemyetemye
Waliwo abazigu abalumbye abatuuze ku byalo bibiri mu ggombolola y’e Kalangaalo mu district y’e Mityana ne bamenya amayumba n’obabba n’abalala ne baleka nga babatemye n’ebijambiya. Bino bibaddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero.