Ebibaluwa bi kirokitwala-omunaku batandise okubisuulira abagagga e Mpigi
Okutya kweyongedde mu batuuze ku byalo okuli Kiringente ne Mabuye mu district ye Mpigi, abatuuze gye batandise okufuna ebibaluwa bi Kiro-kitwala Omunaku ebibakanda ensimbi awatali ekyo babayingirire babatuseeko obulabe. Kyokka ekisinze okwennyamiza abatuuze, nti batuukirira dda poliisi ku nsonga eno naye abakulu tebafangayo na kugendako gye bali okwetegereza embeera.