EBIPAPULA KU TAKISI: Abagoba baazo batiisizza okwediima, baliko bye beemulugunya
Abagoba ba Takisi abeegattira mu kibiina kyabwe ki Uganda Taxi Operators Federetino batiisizza okusimba mmotoka zaabwe singa bekikwatako tebakola ku nsonga z'ebipapula by'engassi ebikyabanjibwa ku mmotoka zaabwe ate nga baabisasula. Bino w'ebiggyidde nga gavumenti etandise ku nteekateeka y'okuteeka nnamba za digito ku mmotoka z'obwannanyini wabula nga okusinziira ku bakulu, mmotoka ezibanjibwa ebipapula si zaakuweebwa nnamba za digito.