Ebula ennaku bbiri zokka empaka za Volleyball eza CAV B Żonę Five zitandike
Ebula ennaku bbiri zokka empaka za Volleyball eza CAV B Żonę Five zigyibweko akawuuwo ku kisaawe ky’omunda e Lugogo. Kkiraabu za Volleyball empanguzi okuva mu mawanga okuli Kenya, Tanzania, Rwanda, Burundi, South Sudan ne Uganda ze zigenda okuttunka mu mpaka zino. Kkiraabu y’abakyala Bannayuganda eya Ndejje Elite y’emu ku zesunze empaka zino. Bano batubuulidde engeri gye beetegeseemu.