Eby’okusasula emisolo; ababalirizi b’ebitabo mu makampuni babanguddwa
Ekitongole ekivunanyizibwa kukusolooza omusolo ki URA kikalatide abasuubuzi okukozesa ekyanya ekyatereeddwawo gavt okusobozesa abatannasasula misolo okugisasula .Bagamba nti kino kirina okukolebwa obutasuka 31 December omwaka guno okwewala okusasula engassi kwosa n’amagoba ku misolo jebalemererwa okusasula.Bano leero basisinkanye ababalirizi b'ebitabo mu makampuni agenjawulo okubabangula ku ngeri gyebalina okukola emirimu gwabwe okulaba nga gavumenti tefiirwa ssente mu misolo .Ensisinkano eno ebade kukitebe kya URA e Nakawa.