Okugatta ebitongole: Minisita Muluri mukasa agamba obuweereza bwa kunywera
Minisita w'abakozi ba Gavumenti Muluuri Mukasa agumizza bannayuganda ng'ekyokuggyawo ebitongole bya gavumenti ebifaanaganya emirimu bwe kitagenda kukosa mpeereza ya gavumenti mu ngeri yonna.Mukasa agamba ssente ezibadde zisaasaanyizibwa ku bitongole bino zaakukozesebwa okwongera amaanyi mu mirimu egikolebwa minisitule z'agavumenti ezenjawulo omuli n'okwongeza emisaala gyabakozi. Okwogera bino Mukasa abadde mu lukungaana lw'abamawulire, abakulu mu minisitule eno mwe balangiridde nga Uganda bw'egenda okukyaza olukungaana olugatta abakulira ebitongole bya gavumenti mu mawanga ga Africa.