Eyaliisa omwana empitambi asindikiddwa mu nkomyo
Stella Namwanje omukazi eyalabikira mu katambi akasaasaanira emikutu gya social media ngasiiga n’okuliisa omwana empitambi, akaligiddwa emyaka 35 mu nkomyo. Namwanje leero azzeemu okulabikako mu kkooti era nakkiriza omusango ogwamuggulwako ogwokutulugunya omwana mu ngeri esingayo obubi. Abatuuze b’e Nyendo, Namwanje gyabadde awangaalira bagamba nti ekibonerezo kino kitono nnyo bwogeraageranye n’ebyambyono ono bye yakola ku mwana.