Eddembe ly’abaliko obulemu; Kyagulanyi: Nja kulissa ku mwanjo singa nkwata obuyinza
Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi abuulidde abaliko obulemu mu ggwanga nti singa amala n'akwata ku buyinza ensonga zaabwe ezibakosa wakuzikuumira nnyo ku mwanjo.Kyagulanyi bino ebyogeredde ku mukolo gwebategese ku kitebe kyabwe e Makerere kavule okujjukira olunaku olw'okwefumiitiriza ku bikosa abaliko obulemu mu ggwanga lyonna.Kyokka talemye nate okwongera okufalaasira bannayuganda okuteeka gavumenti kunninga eyimbule banaabwe abakyakuumirwa mu makomera ku misango egy'enjawulo.