Ekibululu mu ggwanga: UEDCL yeetonze, esuubizza okukyusaamu
Abakulira ekitongole ekikola ku gw’okusasaanya n’okutunda amasannyalaze mu ggwanga ki Uganda Electricity Distribution Company Limited beetondedde bannayuganda olw’amasanyalaze agavavaako,ne basuubiza nti omutawaana guno gwakutandika okukendeera ku nkomerero ya mwaka guno. Bano bagamba nti okuva lwe baakwasibwa obuvunanyizibwa buno bakola butaweera okutereeza empereza yaabwe,kyoka bakyasanga okusomooza naddala olwa TRANSFORMER ezaanafuwa, ababba ebyuma ebitambuza amasanyalaze n’ebirara.