Ekirwadde ekitta embuzi kyakata ezisoba mu 400 e Kabarole
Waliwo ekirwadde ekitategeerekeka ekitandise okutta ebisolo mu district ye Kabarole era nga wetwogerera kyakatta embuzi ezisoba mu 400. Abalunzi mu kitundu kino, balumiriza nti waliwo embuzi ezaagabibwa ekitongole ekimu mu district eno nga ziva Soroti nga kisuubirizibwa nti zino ze zaaleta ekirwadde kino. Bano batuuse n'okussa akazito ku batwala eby'amagana mu kitundu kyabwe, bebalumiriza okuba nga tebafuddeeyo kuzuula lunnabe weruva.Abakulu eno batubuulidde nti baafunye dda sampolo nebaziweereza okwekebejjebwa.