Ekita ekiva ku ssengejjero: Kasaija y’omu ku baludde mu palamenti azzeemu okwesimbawo
Minisita ow’ebyensimbi Matiya Kasaija y’omu ku bannabyabufuzi abawangaalidde mu bifo by’obokulembeze, kyokka era ng’awulira akyalina embavu okugira nga aweereza. Kasaijja ono yakamala ebisanja bina nga yakiikirira ekitundu kye Buyanja mu disitulikiti ye Kibaale okuva mu mwaka 2006,kyokka yasuubizza nti singa addamu nalondebwa,siwakuddamu kuvuganya okusukka 2031. Samuel Ssebuliba alondodde obuweereza bwa Kasaijja kati kyenkana emyaka 38 nga aweereza mu gavumenti.