Mmotoka z’empaka ez’e Bugerere - Jinja zitandise
Abavuzi 40 beebetabye mu luvuga olw'okuna ku kalenda y'omuzannyo gwa mmotoka z'empaka omwaka guno ezigidwako kawuwo olunaku lwaleero mu kibuga Jinja. Empaka zino zakugenda mu maaso n'olunaku lw'enkya nga zitolontokera ku nguudo ez'enjawulo mu bitundu by'e Bugerere.