Oluguudo lwa Kabaka’s lake: KCCA etongozza omulimu gw’okulukola
KCCA etongozza omulimu gw’okukola oluguudo oluyitiwa Kabaka’s Lake Road olusangibwa okumpi n’ennyanja ya Kabaka mu division ye Lubaga. Oluguudo lukwasiddwa aba DOT Services era nga lusuubirwa okuggwera mu myeezi ena. Akulira KCCA Sharifah Buzeki agamba nti luno lwelumu ku nguudo ezigenda okukolebwa mu bbanga lya myaka esatu mu nsimbi zebaawereddwa. Omukolo guno gwetabiddwa Minisita wa Kampala Minsa Kabanda ne Lood meeya Erias Lukwago.